-
Eby’Abaleevi 14:44, 45Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
44 kabona anaayingiranga mu nnyumba eyo n’agikebera. Ekirwadde bwe kibanga kibunye mu nnyumba, ebyo bigenge ebikwata+ ebiri mu nnyumba. Si nnongoofu. 45 Anaalagiranga ne bamenya ennyumba, ne batwala amayinja gaayo n’embaawo zaayo ne pulasita waayo n’ebintu ebirala, ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu.+
-