-
Eby’Abaleevi 11:23-25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
23 Ebiramu ebirala byonna ebibeera mu bibinja ebirina ebiwaawaatiro era ebirina amagulu ana bijja kuba bya muzizo gye muli. 24 Ebyo bijja kubafuulanga abatali balongoofu. Buli anaabikwatangako nga bifudde taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.+ 25 Omuntu yenna anaabisitulanga nga bifudde, anaayozanga ebyambalo bye,+ era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
-
-
Eby’Abaleevi 15:8Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 Oyo alina endwadde emuleetera okuvaamu amazzi bw’anaawandanga amalusu ku muntu omulongoofu, omuntu oyo omulongoofu anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba amazzi, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
-
-
Eby’Abaleevi 22:4-6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
4 Omuntu yenna ow’omu zzadde lya Alooni anaabanga n’ebigenge+ oba endwadde emuleetera okuvaamu amazzi mu bitundu bye eby’ekyama,+ talyanga ku bintu ebitukuvu okutuusa lw’anaabanga omulongoofu,+ k’abe oyo anaakwatanga ku muntu anaabanga afuuse atali mulongoofu olw’omuntu afudde,+ oba anaabanga avuddemu amazzi g’ekisajja,+ 5 oba anaabanga akutte ku kiramu ekibeera mu bibinja ekitali kirongoofu,+ oba anaabanga akutte ku muntu eyafuuka atali mulongoofu olw’ensonga yonna, era ayinza okumufuula atali mulongoofu.+ 6 Omuntu anaakwatanga ku ebyo byonna taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi era taalyenga ku bintu ebitukuvu, wabula anaanaabanga amazzi.+
-