-
Lukka 21:2-4Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 Era n’alaba ne nnamwandu omwavu ng’asuulamu obusente bubiri obw’omuwendo omutono ennyo,*+ 3 n’agamba nti: “Mazima mbagamba nti, nnamwandu oyo omwavu ataddemu kingi okusinga abalala bonna.+ 4 Kubanga abo bonna ebirabo bye bataddemu bye bibadde bibafikkiridde, naye ye wadde ng’ali mu bwetaavu,* ataddemu byonna by’abadde alina.”+
-