-
Ekyamateeka 14:7, 8Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Zino ze mutaalyenga mu ezo ezizza obwenkulumu oba ezo ez’ebinuulo ebyeyawuddemu: eŋŋamira, akamyu, n’akamyu ak’omu njazi, kubanga zizza obwenkulumu naye ebinuulo byazo si byaseemu. Si nnongoofu gye muli.+ 8 Embizzi nayo si nnongoofu gye muli, kubanga erina ekinuulo ekyaseemu naye tezza bwenkulumu. Temulyanga ku nnyama y’ensolo ezo wadde okuzikwatako nga zifudde.
-