-
Eby’Abaleevi 25:15, 16Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Ogulanga ku munno ng’osinziira ku myaka eginaabanga giyiseewo okuva ku Jjubiri era naye akuguzanga ng’asinziira ku myaka gy’ebirime eginaabanga gisigaddeyo.+ 16 Emyaka egisigaddeyo bwe ginaabanga emingi, ayongezanga ku muwendo gw’ekigulwa, ate emyaka egisigaddeyo bwe ginaabanga emitono, akendeezanga ku muwendo gw’ekigulwa, kubanga akuguza muwendo gw’ebirime ebinaakungulwa.
-