-
Eby’Abaleevi 27:9, 10Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 “‘Obweyamo bwe bunaabanga obw’okuwaayo ensolo esaanira okuweebwayo eri Yakuwa, ensolo yonna omuntu gy’anaawangayo eri Yakuwa eneefuukanga kintu kitukuvu. 10 Taleetangamu ndala, oba ennungi okugiwanyisaamu embi, n’embi okugiwanyisaamu ennungi. Naye bw’anaagiwanyisangamu ensolo endala, ensolo eyo ne gy’awanyisizzaamu zinaafuukanga ntukuvu.
-