-
Okuva 13:15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Falaawo bwe yaguguba n’agaana okutuleka okugenda,+ Yakuwa yatta buli mubereberye mu nsi ya Misiri, okuva ku baana ababereberye ab’abantu okutuuka ku bibereberye eby’ensolo.+ Eno ye nsonga lwaki mpaayo eri Yakuwa ebibereberye byonna ebisajja* nga ssaddaaka, era ne nnunula buli mwana ow’obulenzi omubereberye mu baana bange.’
-