-
Okuva 18:25, 26Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 Musa n’alonda mu Isirayiri yonna abasajja abaalina obusobozi, n’abateekawo okukulira enkumi, okukulira ebikumi, okukulira ataano ataano n’okukulira ekkumi ekkumi. 26 Ne balamulanga abantu nga wazzeewo ensonga. Ensonga enzibu ne bazireeteranga Musa,+ naye ensonga entono ne bazimalanga bo bennyini.
-