-
Yoswa 17:3, 4Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
3 Naye Zerofekaadi+ mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, teyalina baana ba bulenzi wabula ba buwala bokka, era gano ge mannya gaabwe: Makula, Nuuwa, Kogula, Mirika ne Tiruza. 4 Awo abawala abo ne bagenda eri Eriyazaali+ kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni n’abaami, ne bagamba nti: “Yakuwa ye yalagira Musa okutuwa obusika mu baganda baffe.”+ Awo ne baweebwa obusika mu baganda ba kitaabwe nga Yakuwa bwe yalagira.+
-