LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okubala 20:24
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 24 “Alooni ajja kugoberera abantu be.*+ Tajja kuyingira mu nsi gye ŋŋenda okuwa Abayisirayiri, olw’okuba mmwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku bikwata ku mazzi g’e Meriba.+

  • Okubala 20:28
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 28 Musa n’ayambula Alooni ebyambalo by’obwakabona n’abyambaza Eriyazaali mutabani we, oluvannyuma Alooni n’afiira eyo waggulu ku lusozi.+ Musa ne Eriyazaali ne bakka okuva ku lusozi.

  • Okubala 33:38
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 38 Alooni kabona n’ayambuka ku Lusozi Kooli nga Yakuwa bwe yalagira, n’afiira eyo mu mwaka ogw’amakumi ana okuva Abayisirayiri lwe baava mu nsi ya Misiri, mu mwezi ogw’okutaano ku lunaku olusooka olw’omwezi ogwo.+

  • Ekyamateeka 10:6
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 6 “Awo Abayisirayiri ne basitula okuva e Beerosu Bene-yaakani okugenda e Mosera. Eyo Alooni gye yafiira era gye yaziikibwa,+ Eriyazaali mutabani we n’atandika okuweereza nga kabona mu kifo kye.+

  • Ekyamateeka 32:50
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 50 Oluvannyuma ojja kufiira ku lusozi olwo lw’ogendako ogoberere abantu bo,* nga Alooni muganda wo bwe yafiira ku Lusozi Kooli+ n’agoberera abantu be,

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share