5 Kye baayogera ne kisanyusa abayigirizwa bonna, ne balonda Siteefano, omusajja eyali ajjudde okukkiriza n’omwoyo omutukuvu, awamu ne Firipo,+ Pulokolo, Nikanoli, Timooni, Palumena, ne Nikolaawo omukyufu ow’e Antiyokiya, 6 ne babaleeta eri abatume, era bwe baamala okusaba, ne babassaako emikono.+