-
Okuva 29:38Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
38 “Bino by’onoowangayo ku kyoto: endiga bbiri ennume, nga buli emu ya mwaka gumu, buli lunaku obutayosa.+
-
-
Eby’Abaleevi 6:9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 “Gamba Alooni ne batabani be nti, ‘Lino lye tteeka ery’ekiweebwayo ekyokebwa:+ Ekiweebwayo ekyokebwa kinaabeeranga ku kyoto ekiro kyonna okutuusa ku makya, era omuliro gunaasigalanga nga gwaka ku kyoto.
-
-
Ezeekyeri 46:15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Buli ku makya banaategekanga endiga ento ennume, ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’amafuta g’ezzeyituuni okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku.’
-