-
Okuva 29:38Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
38 “Bino by’onoowangayo ku kyoto: endiga bbiri ennume, nga buli emu ya mwaka gumu, buli lunaku obutayosa.+
-
-
Okuva 29:42Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
42 Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekinaaweebwangayo obutayosa mu mirembe gyammwe gyonna ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu mu maaso ga Yakuwa, we nnaabalabikiranga okwogera naawe.+
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 2:4Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
4 Kaakano nzimba ennyumba ey’erinnya lya Yakuwa Katonda wange ngimutukulize, njoterezenga obubaani obw’akaloosa+ mu maaso ge, nzisengawo emigaati egipangibwa,*+ era mpengayo ebiweebwayo ebyokebwa ku makya n’akawungeezi,+ ku ssabbiiti,+ ku kuboneka kw’omwezi,+ ne ku mbaga+ za Yakuwa Katonda waffe. Kino Isirayiri eteekeddwa okukikola olubeerera.
-