-
Okuva 29:39, 40Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
39 Ojja kuwangayo endiga emu ku makya, ate endiga endala ogiweeyo akawungeezi.*+ 40 Awamu n’omwana gw’endiga ogusooka, ojja kuwangayo kimu kya kkumi ekya efa* y’obuwunga obutaliimu mpulunguse nga butabuddwamu ekitundu kimu kya kuna ekya yini* y’amafuta agaggiddwa mu zzeyituuni enkube, ne kimu kya kuna ekya yini y’envinnyo ey’ekiweebwayo eky’eby’okunywa.
-