41 Ojja kuwangayo endiga ey’okubiri akawungeezi awamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekiringa ekyo ekiweebwayo ku makya, era n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekiringa ekyo ekiweebwayo ku makya. Onoobiwangayo okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro.