-
Ekyamateeka 1:34-38Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
34 “Yakuwa yawulira ebigambo byammwe n’asunguwala era n’alayira+ ng’agamba nti, 35 ‘Tewali n’omu ku basajja ab’omulembe guno omubi aliraba ensi ennungi gye nnalayira okuwa bakitammwe,+ 36 okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune. Ye aligiraba, era ye n’abaana be ndibawa ekitundu mu nsi gye yatambulamu, kubanga agoberedde Yakuwa n’omutima gwe gwonna.+ 37 (Era nange Yakuwa yansunguwalira olw’okubeera mmwe n’aŋŋamba nti, “Naawe toligiyingiramu.+ 38 Yoswa mutabani wa Nuuni omuweereza wo*+ y’aligiyingiramu.’+ Mugumye*+ kubanga y’alikulemberamu Isirayiri okutwala ensi eyo.”)
-