-
Ekyamateeka 3:19, 20Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
19 Naye bakazi bammwe n’abaana bammwe n’ensolo zammwe (nkimanyi nti mulina ensolo nnyingi) bye bijja okusigala mu bibuga bye mbawadde, 20 okutuusa Yakuwa lw’anaawa baganda bammwe ekiwummulo nga nammwe bw’akibawadde, era okutuusa nabo lwe banaatwala ensi Yakuwa Katonda wammwe gy’anaabawa emitala wa Yoludaani. Oluvannyuma mujja kudda buli omu ku butaka bwe bwe mbawadde.’+
-
-
Yoswa 1:14, 15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
14 Bakazi bammwe n’abaana bammwe abato bajja kusigala n’ebisolo byammwe, mu kitundu Musa kye yabawa ku luuyi luno* olwa Yoludaani;+ naye mmwe mmwenna abalwanyi abazira+ mukulemberemu baganda bammwe musomoke nga mulinga eggye eryetegekedde olutalo. Mulina okuyamba baganda bammwe+ 15 okutuusa Yakuwa lw’alibawa emirembe nga nammwe bwe yagibawa, era okutuusa nabo lwe balimala okulya ensi Yakuwa Katonda wammwe gy’abawa, olwo ne mulyoka muddayo mu kitundu Musa omuweereza wa Yakuwa kye yabawa okubeeramu ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Yoludaani.’”+
-
-
Yoswa 13:8Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu ekimu eky’okubiri ekirala eky’ekika kya Manase baatwala obusika bwabwe Musa bwe yabawa ku ludda olw’ebuvanjuba olwa Yoludaani, nga Musa omuweereza wa Yakuwa bwe yali abubawadde:+
-