-
Yoswa 1:12-14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Yoswa n’agamba ab’ekika kya Lewubeeni n’ab’ekika kya Gaadi n’ab’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase nti: 13 “Mujjukirenga ebyo Musa omuweereza wa Yakuwa bye yayogera ng’abagamba nti:+ ‘Yakuwa Katonda wammwe abawa emirembe era abawadde ensi eno. 14 Bakazi bammwe n’abaana bammwe abato bajja kusigala n’ebisolo byammwe, mu kitundu Musa kye yabawa ku luuyi luno* olwa Yoludaani;+ naye mmwe mmwenna abalwanyi abazira+ mukulemberemu baganda bammwe musomoke nga mulinga eggye eryetegekedde olutalo. Mulina okuyamba baganda bammwe+
-