16 “Omulyango gw’oluggya gujja kuba n’olutimbe lwa mikono 20 obuwanvu nga lukoleddwa mu wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa, nga zonna zirukiddwa wamu;+ empagi zijja kuba nnya, n’obutoffaali bwazo obulimu ebituli+ bujja kuba buna.