-
Yoswa 13:27, 28Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
27 ne mu kiwonvu, ne Besu-kalani, ne Besu-nimira,+ ne Sukkosi,+ ne Zafoni, n’ekitundu ekyasigalawo eky’obwakabaka bwa Kabaka Sikoni owa Kesuboni,+ ng’ensalo eva ku Yoludaani n’etuukira ddala ku nkomerero y’Ennyanja Kinneresi*+ ebuvanjuba w’Omugga Yoludaani. 28 Obwo bwe bwali obusika bw’Abagaadi ng’empya zaabwe bwe zaali, awamu n’ebibuga n’ebyalo ebibyetoolodde.
-