29 Ate Musa yawa ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase obusika, ne buba bwabwe n’empya zaabwe.+ 30 Ekitundu kyabwe kyali kiva e Makanayimu+ ne kizingiramu Basani yonna, obwakabaka bwonna obwa Kabaka Ogi owa Basani, n’obubuga obutono bwonna obwa Yayiri+ obwali mu Basani, obubuga 60.