-
Okubala 26:54Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
54 Ebibinja ebirimu abantu abangi ojja kubiwa ekitundu kinene okuba obusika, ate ebibinja ebirimu abantu abatono ojja kubiwa ekitundu kitono okuba obusika.+ Buli kibinja kijja kuweebwa obusika okusinziira ku muwendo gw’abantu abawandiikiddwa.
-
-
Okubala 33:54Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
54 Ensi mujja kugigabana nga mukuba kalulu+ okusinziira ku mpya zammwe. Ekibinja ekirimu abantu abangi mujja kukiwa ekitundu kinene okuba obusika, ate ekirimu abatono mujja kukiwa ekitundu kitono okuba obusika.+ Buli omu akalulu we kanaamuteeka we wajja okuba obusika bwe. Mujja kufuna ettaka ery’obusika okusinziira ku bika bya bakitammwe.+
-