-
Yoswa 20:4, 5Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
4 Oyo anaabanga asse omuntu anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo+ n’ayimirira ku mulyango gw’ekibuga+ n’ategeeza abakadde b’omu kibuga ekyo ensonga ze. Era banaamuyingizanga mu kibuga ne bamuwa aw’okubeera era anaabeeranga nabo. 5 Oyo awoolera eggwanga bw’anaamuwonderanga, anaabanga asse omuntu tebamuwangayo mu mukono gwe, kubanga omuntu yamutta mu butanwa naye si lwa kumukyawa.+
-