42 Abaana ba Merali baawandiikibwa okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba ya bakitaabwe, 43 bonna okuva ku b’emyaka 30 okutuuka ku b’emyaka 50 abaali mu kibinja ekyaweebwa okukola emirimu ku weema ey’okusisinkaniramu.+ 44 Bonna abaawandiikibwa okusinziira ku mpya zaabwe baali 3,200.+