-
Okuva 26:32Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
32 Ojja kuluwanika ku mpagi nnya ez’omuti gwa sita ezibikkiddwako zzaabu. Amalobo gaazo gajja kuba ga zzaabu. Empagi zijja kuba ku butoffaali buna obwa ffeeza obulimu ebituli.
-
-
Okuva 26:37Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
37 Olutimbe ojja kulukolera empagi ttaano mu muti gwa sita ozibikkeko zzaabu. Amalobo gaazo gajja kuba ga zzaabu, era empagi ojja kuzikolera obutoffaali butaano obw’ekikomo obulimu ebituli.
-
-
Okuva 36:37, 38Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
37 Omulyango oguyingira mu weema yagukolera olutimbe mu wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani ezaali zirangiddwa, nga zonna zirukiddwa wamu;+ 38 era yagukolera n’empagi ttaano n’amalobo gaazo. Emitwe gy’empagi n’ebiyunga* byazo yabibikkako zzaabu, naye obutoffaali bwazo obutaano obulimu ebituli bwali bwa kikomo.
-