-
Okuva 27:10, 11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 Lujja kubaako empagi 20 n’obutoffaali 20 obw’ekikomo obulimu ebituli. Amalobo g’empagi n’ebiyunga* byazo bijja kuba bya ffeeza. 11 Entimbe ez’oku luuyi olw’ebukiikakkono nazo zijja kuba emikono 100 obuwanvu; empagi zaalwo zijja kuba 20, obutoffaali bwazo obw’ekikomo obulimu ebituli bujja kuba 20, ate amalobo n’ebiyunga* by’empagi bijja kuba bya ffeeza.
-