25 Naye bw’anaawezanga emyaka 50 anaawummulanga n’alekera awo okuweereza mu kibinja ekiweereza. 26 Anaayambanga ku baganda be nga bakola emirimu gyabwe ku weema ey’okusisinkaniramu, naye ye taaweerezenga. Bw’otyo bw’onookolanga ku bikwata ku Baleevi n’emirimu gyabwe.”+