23 “Era ojja kukola emmeeza+ mu mbaawo z’omuti gwa sita; obuwanvu ejja kuba emikono ebiri, obugazi ejja kuba omukono gumu, ate obugulumivu ejja kuba omukono gumu n’ekitundu.+ 24 Ojja kugibikkako zzaabu omulongoofu, era ojja kugissaako omuge ogwa zzaabu.