5 “Onoddiranga obuwunga obutaliimu mpulunguse n’obukolamu obugaati 12 obwetooloovu. Buli kamu kajja kukolebwanga mu bitundu bibiri bya kkumi ebya efa y’obuwunga. 6 Ojja kubuteeka ku mmeeza eya zzaabu omulongoofu mu maaso ga Yakuwa.+ Ojja kubuteeka mu mbu bbiri, buli lubu obugaati mukaaga.+