-
Olubereberye 46:2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 Katonda n’ayogera ne Isirayiri mu kwolesebwa ekiro n’amugamba nti: “Yakobo, Yakobo!” N’amuddamu nti: “Nzuuno!”
-
-
Okuva 24:9-11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 Musa ne Alooni ne Nadabu ne Abiku n’abakadde 70 aba Isirayiri ne bambuka ku lusozi, 10 ne balaba Katonda wa Isirayiri.+ Wansi w’ebigere bye waaliwo ekyali kirabika ng’amayinja ga safiro amaaliire era nga gatukula ng’eggulu.+ 11 Teyakola kabi ku basajja ba Isirayiri abo ab’ekitiibwa,+ era baalaba Katonda ow’amazima mu kwolesebwa, ne balya era ne banywa.
-