7 Musituke mugende mu kitundu ky’Abaamoli eky’ensozi,+ ne mu bitundu ebiriraanyeewo byonna: mu Alaba,+ mu kitundu eky’ensozi, mu Sefera, mu Negebu, ne mu kitundu ekiriraanye ennyanja.+ Mugende mu nsi y’Abakanani, mutuukire ddala e Lebanooni+ ne ku mugga omunene, Omugga Fulaati.+