11 Baabawa Kiriyasu-aluba+ (Aluba ye yali kitaawe wa Anaki); Kiriyasu-aluba, kwe kugamba, Kebbulooni,+ ekiri mu kitundu kya Yuda eky’ensozi, n’amalundiro agakyetoolodde; 12 naye ebitundu ebiri ebweru w’ekibuga n’ebyalo byakyo baabiwa Kalebu mutabani wa Yefune.+