-
Ekyabalamuzi 1:21Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
21 Ababenyamini tebaagoba Bayebusi abaali babeera mu Yerusaalemi; Abayebusi bakyabeera wamu n’Ababenyamini mu Yerusaalemi n’okutuusa leero.+
-
-
2 Samwiri 5:6, 7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Awo kabaka n’abasajja be ne bagenda e Yerusaalemi okulwanyisa Abayebusi+ abaali babeerayo. Abayebusi ne basoomooza Dawudi nga bagamba nti: “Toliyingira muno, kubanga ne bamuzibe n’abalema balikugoba.” Abayebusi baali balowooza nti: ‘Dawudi taliyingira muno.’+ 7 Wadde kyali kityo, Dawudi yawamba ekigo kya Sayuuni, era ekyo kaakano kye Kibuga kya Dawudi.+
-