7 Nnalina emyaka 40 Musa omuweereza wa Yakuwa we yantumira okuva e Kadesi-baneya okuketta ensi,+ era nnaddayo ne mmutegeeza ebintu byonna nga bwe nnabiraba.+ 8 Wadde baganda bange be nnagenda nabo baaleetera abantu okutya, nze nnagondera Yakuwa Katonda wange n’omutima gwange gwonna.+