-
Eby’Abaleevi 24:2, 3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 “Lagira Abayisirayiri bakuleetere amafuta amalongoofu ag’ezzeyituuni ag’okussa mu ttaala, kizisobozese okwakanga buli kiseera.+ 3 Buli kawungeezi, Alooni anaakoleezanga ettaala era n’akakasa nti zisigala zaakira mu maaso ga Yakuwa okutuusa ku makya, mu weema ey’okusisinkaniramu, mu maaso g’olutimbe oluli okumpi n’essanduuko y’endagaano. Eryo tteeka lya lubeerera mu mirembe gyammwe gyonna.
-
-
Okubala 3:32Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
32 Omwami omukulu ow’Abaleevi yali Eriyazaali+ mutabani wa Alooni kabona, eyakuliranga abo abaakolanga emirimu egy’omu kifo ekitukuvu.
-