-
Okuva 29:32Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
32 Alooni ne batabani be bajja kuliira+ ennyama y’endiga eyo n’emigaati egiri mu kibbo ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.
-
-
Eby’Abaleevi 6:14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
14 “‘Lino lye tteeka ery’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke:+ Batabani ba Alooni banaakiwangayo eri Yakuwa mu maaso g’ekyoto.
-
-
Eby’Abaleevi 10:12, 13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Musa n’agamba Alooni ne batabani be, Eriyazaali ne Isamaali, abaali basigaddewo nti: “Mutwale ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekifisseewo ku biweebwayo bya Yakuwa ebyokebwa n’omuliro, mukiriire okumpi n’ekyoto+ ng’omugaati ogutali muzimbulukuse, kubanga kintu kitukuvu nnyo.+ 13 Mukiriire mu kifo ekitukuvu,+ kubanga gwe mugabo gwo era gwe mugabo gwa batabani bo okuva ku biweebwayo eri Yakuwa ebyokebwa n’omuliro, kubanga ekyo kye bandagidde.
-