-
Okuva 34:20Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
20 Omwana gw’endogoyi omubereberye ogununuzanga endiga. Naye bw’otoogununulenga omenyanga ensingo yaagwo. Buli mwana ow’obulenzi omubereberye mu baana bo omununulanga.+ Tewabanga n’omu ajja mu maaso gange ngalo nsa.
-
-
Eby’Abaleevi 27:27Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
27 Omwana gw’ensolo omubereberye bwe gubanga ogw’ensolo etali nnongoofu n’agununula ng’asinziira ku muwendo ogunaabanga gubaliriddwa, anaasasulanga omuwendo ogwo n’agattako kimu kya kutaano eky’omuwendo ogwo.+ Naye bwe gutaanunulwenga, gunaatundibwanga ku muwendo ogunaabanga gubaliriddwa.
-