10 Awo Nadabu ne Abiku,+ batabani ba Alooni, buli omu n’akwata ekyoterezo kye n’akissaako omuliro n’obubaani.+ Ne baleeta mu maaso ga Yakuwa omuliro ogutakkirizibwa,+ gwe yali tabalagidde kuwaayo. 2 Awo omuliro ne guva eri Yakuwa ne gubookya,+ ne bafiira mu maaso ga Yakuwa.+