-
Okubala 22:10, 11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 Balamu n’agamba Katonda ow’amazima nti: “Balaki mutabani wa Zipoli, kabaka wa Mowaabu, ampeerezza obubaka ng’agamba nti, 11 ‘Waliwo abantu abavudde e Misiri ababuutikidde ensi. Jjangu onnyambe obakolimire,+ oboolyawo nnaasobola okubalwanyisa ne mbagobamu.’”
-
-
Okubala 23:11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Awo Balaki n’agamba Balamu nti: “Kiki kino ky’onkoze? Nnakuleese kukolimira balabe bange naye ate ggwe obawadde buwi mukisa.”+
-
-
Nekkemiya 13:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Ku lunaku olwo ekitabo kya Musa ne kisomebwa ng’abantu bawulira,+ ne kizuulibwa nga kyawandiikibwa nti Omwamoni n’Omumowaabu+ tebalina kujja mu kibiina kya Katonda ow’amazima,+ 2 kubanga tebaawa Bayisirayiri mmere na mazzi, naye baapangisa Balamu abakolimire,+ kyokka Katonda waffe ekikolimo n’akifuula omukisa.+
-