-
Okubala 22:16, 17Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
16 Ne bagenda eri Balamu ne bamugamba nti: “Bw’ati Balaki mutabani wa Zipoli bw’agamba, ‘Nkwegayiridde tokkiriza kintu kyonna kukulemesa kujja gye ndi. 17 Nja kukugulumiza nnyo, era kyonna ky’onoŋŋamba nja kukikola. Nkwegayiridde jjangu onnyambe okolimire abantu bano.’”
-