-
Amosi 9:11, 12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 ‘Ku lunaku olwo ndiyimusa ensiisira ya Dawudi+ eyagwa,
Ndiddaabiriza ebituli byayo,
Ndizzaawo ebyayo ebyamenyekamenyeka;
Ndiddamu okugizimba n’eba nga bwe yali mu biseera eby’edda,+
12 Balyoke batwale ebya Edomu ebyasigalawo,+
Era n’eby’amawanga gonna agayitibwa erinnya lyange,’ Yakuwa akola bino bw’agamba.
-