-
Ekyamateeka 17:2, 3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 “Bwe wanaalabikanga mu ggwe mu kimu ku bibuga Yakuwa Katonda wo by’akuwa, omusajja oba omukazi akola ekintu ekibi mu maaso ga Yakuwa Katonda wo n’amenya endagaano ye,+ 3 n’awaba n’atandika okusinza bakatonda abalala n’okubavunnamira, oba n’avunnamira enjuba oba omwezi oba eggye lyonna ery’oku ggulu,+ ekintu kye saalagira;+
-
-
Ekyamateeka 17:7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Abajulizi be banaasookanga okumukuba amayinja okumutta, n’abantu abalala bonna ne balyoka bamukuba. Oggyangawo ekibi mu mmwe.+
-