23 Ggwanga ki eddala ku nsi eriringa abantu bo Isirayiri?+ Wagenda n’obanunula n’obafuula abantu bo,+ ne weekolera erinnya+ ng’obakolera ebintu eby’ekitalo era eby’entiisa.+ Wagoba amawanga ne bakatonda baago ku lw’abantu bo be weenunulira okuva e Misiri.