25 Ojja kugobebwa mu bantu obeerenga wamu n’ensolo ez’omu nsiko. Ojja kulyanga muddo ng’ente; era omusulo ogw’oku ggulu+ gujja kukutobyanga. Ebiseera musanvu+ bijja kukuyitako,+ okutuusa lw’olimanya nti Oyo Asingayo Okuba Waggulu afuga mu bwakabaka bw’abantu, era nti abuwa oyo yenna gw’ayagala.+