-
1 Ebyomumirembe Ekisooka 25:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 Ate era Dawudi n’abakulu b’ebibinja by’obuweereza ne balonda abamu ku baana ba Asafu, n’aba Kemani, n’aba Yedusuni+ baweereze nga boogera eby’obunnabbi nga bakubirako entongooli n’ebivuga eby’enkoba+ n’ebitaasa.+ Olukalala lw’abo abeenyigira mu buweereza obwo lwe luno: 2 Ku baana ba Asafu: Zakkuli, Yusufu, Nesaniya, ne Asalera. Abaana ba Asafu abo baali wansi w’obulagirizi bwa Asafu eyayogeranga eby’obunnabbi ng’ali wansi w’obulagirizi bwa kabaka.
-