3 Yakuwa n’agamba Sitaani nti: “Olowoozezza ku muweereza wange Yobu? Tewali alinga ye ku nsi. Musajja mwesigwa+ era mugolokofu, atya Katonda, era yeewala ebibi. Akyakuumye obugolokofu bwe+ wadde ng’ogezezzaako okundeetera mmusunguwalire+ mmutte awatali nsonga.”