-
Danyeri 7:13, 14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 “Nneeyongera okutunuulira ebyo bye nnali njolesebwa ekiro, ne ndaba oyo eyali afaanana ng’omwana w’omuntu+ ng’ajjira mu bire eby’eggulu; n’akkirizibwa okugenda awaali Oyo Abaddewo Okuva Edda n’Edda,+ ne bamutwala mu maaso ge. 14 N’aweebwa obufuzi,+ n’ekitiibwa,+ n’obwakabaka, abantu b’amawanga gonna n’ennimi zonna bamuweerezenga.+ Obufuzi bwe bwe bufuzi obw’emirembe n’emirembe obutalivaawo, era obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.+
-
-
Okubikkulirwa 19:16Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
16 Ku kyambalo kye eky’okungulu, kwe kugamba, awali ekisambi kye, kwaliko erinnya lino: Kabaka wa bakabaka, era Mukama wa bakama.+
-