34 “Ekiseera ekyo bwe kyaggwaako,+ nze Nebukadduneeza ne ntunula waggulu era ne nziramu okutegeera; ne ntendereza Oyo Asingayo Okuba Waggulu, era Oyo abeerawo emirembe gyonna ne mmutendereza era ne mmugulumiza, kubanga obufuzi bwe bwa mirembe gyonna, n’obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe.+