15 Kubanga bw’ati Oyo Ali Waggulu era Agulumidde bw’agamba,
Oyo abeerawo emirembe n’emirembe+ era alina erinnya ettukuvu:+
“Mbeera mu kifo ekya waggulu era ekitukuvu,+
Kyokka era mbeera n’abo abanyigirizibwa era abeetoowaze,
Okuzza obuggya omwoyo gw’abanaku,
N’okuzza obuggya omutima gw’abo abanyigirizibwa.+