-
Yeremiya 52:12, 13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Mu mwezi ogw’okutaano, ku lunaku olw’ekkumi, nga gwe gwali omwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obufuzi bwa Kabaka Nebukadduneeza* kabaka wa Babulooni, Nebuzaladaani eyali akulira abakuumi, era eyali omuweereza wa kabaka wa Babulooni, yagenda e Yerusaalemi.+ 13 Yayokya ennyumba ya Yakuwa,+ n’ennyumba ya* kabaka, n’amayumba gonna ag’omu Yerusaalemi; buli nnyumba ennene yagyokya omuliro.
-